Ennyiriri za Bayibuli ku Katonda Omugaba waffe

Ennyiriri za Bayibuli 10 ku Katonda Omugaba waffe okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abafiripi 4:19

Kale ne Katonda wange alibawa buli kye mwetaaga ng’obugagga bwe obungi obuli mu Kristo Yesu bwe buli.

02 Matayo 6:33

Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako.

03 Zabbuli 23:1

Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.

04 Olubereberye 22:14

Ibulayimu kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya Mukama alitugabirira, era ne kaakano bwe kiyitibwa nti ku lusozi lwa Mukama anaagabiriranga.

05 Zabbuli 34:10

Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi; naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.

06 2 Abakkolinso 9:8

Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi,

07 Lukka 12:24

Mulowooze ku namuŋŋoona, tezisiga so tezikungula, era tezirina na mawanika mwe zitereka mmere yaazo, naye Katonda aziriisa. Naye mmwe muli ba muwendo nnyo okukira ennyonyi ezo!

08 Zabbuli 145:15-16

Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama, era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo. Oyanjuluza engalo zo, ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.

09 Zabbuli 84:11

Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe; atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa; tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.

10 Matayo 7:11

Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba?

Emitwe egikwatagana