Ennyiriri za Bayibuli ku Obulungi bwa Katonda

Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Obulungi bwa Katonda okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Zabbuli 34:8

Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi! Balina omukisa abaddukira gy’ali.

02 Zabbuli 100:5

Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera; n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

03 Zabbuli 145:9

Mukama mulungi eri buli muntu, era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.

04 Nakkumu 1:7

Mukama mulungi, kiddukiro mu kiseera eky’okulabiramu ennaku, era alabirira abo bonna abamwesiga.

05 Abaruumi 8:32

Oyo ataasaasira Mwana we ye, naye n’amuwaayo ku lwaffe ffenna, talituwa buwi bintu byonna awamu naye?

06 Zabbuli 31:19

Obulungi bwo, bwe waterekera abo abakutya nga buyitirivu, n’obuwa mu lwatu abo abaddukira gy’oli.

07 Zabbuli 27:13

Nkyakakasiza ddala nga ndiraba obulungi bwa Mukama mu nsi ey’abalamu.

08 Zabbuli 84:11

Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe; atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa; tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.

09 Zabbuli 23:6

Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange ennaku zonna ez’obulamu bwange; nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama, ennaku zonna.

10 Yakobo 1:17

Buli kirabo ekirungi ekituukiridde, kiva mu ggulu eri Kitaffe, eyatonda eby’omu bbanga ebyaka, atakyukakyuka newaakubadde okwefuula ekirala.

11 Zabbuli 86:5

Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama; n’abo bonna abakukoowoola obaagala nnyo.

12 Okuva 33:19

Mukama n’agamba nti, “Nzija kuggyayo obulungi bwange bwonna nga mbuyisa mu maaso go. Era nzija kukutegeeza erinnya lyange, Mukama. Buli gwe nnaayagalanga okukwatirwa ekisa, nnaamukwatirwanga ekisa, ne buli gwe nnaayagalanga okusaasira nnaamusaasiranga.”

13 Zabbuli 119:68

Ayi Mukama, oli mulungi era okola ebirungi; onjigirize amateeka go.

14 Yeremiya 29:11

Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso,” bw’ayogera Mukama.

Emitwe egikwatagana