Ennyiriri za Bayibuli ku Okusaasira

Ennyiriri za Bayibuli 5 ku Okusaasira okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaefeso 2:4-5

Kyokka olw’okwagala kwe okungi, n’ekisa kye ekingi, ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa.

02 Okukungubaga 3:22-23

Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo, tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo. Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya; n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.

03 Tito 3:5

n’atulokola, si lwa bikolwa eby’omu butuukirivu bye twakola, wabula olw’okusaasira kwe mu kunaazibwa okw’okuzaalibwa okw’omulundi ogwokubiri n’okufuulibwa abaggya olwa Mwoyo Mutukuvu,

04 Abaebbulaniya 4:16

Kale tusembererenga entebe ya Katonda ey’obwakabaka ey’ekisa n’obuvumu, tufune okusaasirwa n’ekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.

05 Mikka 7:18

Katonda ki omulala ali nga ggwe, asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo abaasigalawo ku bantu be? Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna, naye asanyukira okusaasira.

Emitwe egikwatagana