Ennyiriri za Bayibuli ku Obwesige mu Katonda
Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Obwesige mu Katonda okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Nkakasiza ddala nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu.
Kyetuva twogera n’obuvumu nti, “Mukama ye mubeezi wange, siityenga, omuntu ayinza kunkola ki?”
Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange; ani gwe nnaatyanga? Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange; ani asobola okuntiisa?
Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gy’ali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bw’asiima atuwulira.
Kale tusembererenga entebe ya Katonda ey’obwakabaka ey’ekisa n’obuvumu, tufune okusaasirwa n’ekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.
Kubanga Mukama y’anaabeeranga obwesigwa bwo, era anaalabiriranga ekigere kyo ne kitakwatibwa mu mutego.
Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya. Abantu bayinza kunkolako ki?
Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.
era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa okutuusa olunaku luli.