Ennyiriri za Bayibuli ku Okutambula mu Kukkiriza

Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Okutambula mu Kukkiriza okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 2 Abakkolinso 5:7

Kubanga tutambula lwa kukkiriza so si lw’amaaso gaffe bye galaba.

02 Abaebbulaniya 11:6

Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era n’abo abamunoonya n’obwesigwa abawa empeera.

03 Abaruumi 1:17

Kubanga mu yo obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa. Obutuukirivu obwo butuweebwa olw’okukkiriza, olw’okukkiriza kwokka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza.”

04 Abaggalatiya 2:20

kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange.

05 Abakkolosaayi 2:6

Nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga mu ye,

06 Abaebbulaniya 11:8

Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yayitibwa, n’agonda, n’alaga mu kifo kye yali agenda okuweebwa ng’omugabo, bw’atyo n’agenda nga ne gy’alaga tamanyiiyo.

07 Kaabakuuku 2:4

“Laba oyo ow’emmeeme eteri nnongoofu wa kugwa, naye omutuukirivu aliba mulamu olw’obwesigwa bwe.”

08 Abaruumi 4:20-21

Teyabuusabuusa kisuubizo kya Katonda mu butakkiriza, naye yaweebwa amaanyi lwa kukkiriza; n’agulumiza Katonda. Yakakasiza ddala nti Katonda kye yasuubiza asobola okukituukiriza,

Emitwe egikwatagana