Ennyiriri za Bayibuli ku Abalamu mu Kristo
Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Abalamu mu Kristo okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa.
Kyokka olw’okwagala kwe okungi, n’ekisa kye ekingi, ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa.
kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange.
Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.
Mwali mufudde olw’ebyonoono byammwe ne mu butakomolebwa bwammwe obw’okwegomba kw’omubiri. Katonda n’abafuula balamu wamu ne Kristo, ffenna bwe yatusonyiwa ebyonoono byaffe byonna.
“Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, n’akkiriza eyantuma, aba n’obulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ng’atuuse mu bulamu.
Kuba ng’abantu bonna bwe baafa olwa Adamu, era bwe batyo bonna balifuulibwa abalamu olwa Kristo.
Yesu n’amugamba nti, “Nze kuzuukira n’obulamu; akkiriza nze newaakubadde ng’afudde, aliba mulamu, na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe. Ekyo okikkiriza?”
Era obanga Kristo ali mu mmwe, omubiri gwammwe mufu olw’ekibi, ate ng’omwoyo gwammwe mulamu olw’obutuukirivu.