Ennyiriri za Bayibuli ku Amaka
Ennyiriri za Bayibuli 12 ku Amaka okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Naye bwe muba temwagala kuweereza Mukama, mulondeewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda babajjajjammwe abaali emitala w’omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Abamoli, bannannyini nsi mwe muli. Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama Katonda.”
Mukama bw’atazimba nnyumba, abo abagizimba bazimbira bwereere. Mukama bw’atakuuma kibuga, abakuumi bateganira bwereere.
Amagezi ge gazimba ennyumba, n’okutegeera kwe kugiggumiza. Olw’amagezi ebisenge by’ayo bijjula ebintu ebirungi, eby’obugagga ebitalabikalabika eby’omuwendo omungi.
Omukazi ow’amagezi yeezimbira ennyumba ye, naye omusirusiru eyiye agyemenyera n’emikono gye.
Ne bamugamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe n’ennyumba yo yonna.”
Onoogawandiikanga ku myango gy’ennyumba yo, era ne ku nzigi zo.
Abakozi b’ebibi bagwa ne basaanirawo ddala, naye ennyumba y’omutuukirivu teesagaasaganenga emirembe gyonna.
Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu obugagga bungi, naye omukozi w’ebibi by’afuna, bimuleetera emitawaana.
Mu nnyumba yo, mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo; abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni nga beetoolodde emmeeza yo.
Alabirira nnyo empisa z’ab’omu nnyumba ye, era talya mmere ya bugayaavu.
Naye omuntu yenna bw’atalabirira bantu be, na ddala ab’omu nnyumba ye, aba yeegaanyi okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.
Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu, naye olijja ddi gye ndi? Nnaabeeranga mu nnyumba yange nga siriiko kya kunenyezebwa.