Ennyiriri za Bayibuli ku Okussaamu Abazadde Ekitiibwa
Ennyiriri za Bayibuli 7 ku Okussaamu Abazadde Ekitiibwa okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu. “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,” eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti: Bw’onoobanga obulungi, era n’owangaala ku nsi.
Wulirizanga kitaawo eyakuzaala, so togayanga nnyoko ng’akaddiye.
Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.
Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo, era tolekanga kukuutira kwa maama wo;
“Buli omu mu mmwe assengamu nnyina ne kitaawe ekitiibwa; era mukuumenga Ssabbiiti zange. Nze Mukama Katonda wammwe.
Mwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo, era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.