Ennyiriri za Bayibuli ku Abaana
Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Abaana okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama; era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.
Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ng’abo be bannannyini bwakabaka obw’omu ggulu.”
Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi, n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo. Alina omukisa omuntu oyo ajjuzza ensawo ye n’obusaale, kubanga tebaliswazibwa; balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.
Awo n’asitula abaana n’abassaako emikono gye, n’abawa omukisa.
Abazzukulu ngule ya bajjajjaabwe, era n’abaana beenyumiririza mu bakadde baabwe.
Kyokka Yesu bwe yabiraba n’anyiigira nnyo abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Abaana mubaleke bajje gye ndi, temubagaana kubanga abali nga bano, be bannannyini bwakabaka bwa Katonda.
Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose.
Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu, ne bw’alikula talirivaamu.
“Na buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange ng’asembeza Nze.