Ennyiriri za Bayibuli ku Ensonyi
Ennyiriri za Bayibuli 5 ku Ensonyi okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Buli amukkiriza taliswazibwa.”
02 Isaaya 61:7
Mu kifo ky’ensonyi, abantu bange baliddizibwawo emirundi ebiri. Mu kifo ky’okuswala basanyuke olw’ebyo bye balifuna era balifuna omugabo gwa mirundi ebiri, essanyu lyabwe liribeerera emirembe gyonna.
03 Zabbuli 34:5
Abamwesiga banajjulanga essanyu, era tebaaswalenga.
04 Abaruumi 8:1
Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okw’omubiri wabula ne bagoberera Omwoyo.
05 Isaaya 54:4
“Totya kubanga toliddayo kukwatibwa nsonyi. Toggwaamu maanyi kubanga togenda kuswazibwa. Olyerabira ensonyi z’obuvubuka bwo, n’ekivume ky’obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.