Ennyiriri za Bayibuli ku Omusana gw'Ensi
Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Omusana gw'Ensi okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
“Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga tekikwekebwa ku lusozi.
Kale nammwe ebikolwa byammwe ebirungi byakirenga abantu bonna, babirabenga, bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.
Edda mwali ng’abantu ab’ekizikiza, naye kaakano muli bantu ba musana mu Mukama waffe. Noolwekyo mutambulenga ng’abaana ab’omusana,
mulyoke mube nga temuliiko kyakunenyezebwa nga muli balongoofu, mube abaana ba Katonda abatalina bbala, wakati mu mulembe ogwakyama era omwonoonefu, mwe mubeere ekyokulabirako eky’amaanyi mu nsi,
Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, “Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu.”
Temwenyigiranga mu bikolwa bya kizikiza kubanga tebigasa, wabula munenyenga ababikola.
Kubanga mmwe mwenna muli baana ba musana era baana ba butangaavu. Tetuli ba kiro yadde ab’ekizikiza.
Kubanga bw’atyo Mukama bwe yatulagira bwe yagamba nti, “ ‘Mbafudde omusana okwakira Abaamawanga, olw’obulokozi okutuuka ku nkomerero y’ensi.’ ”
Kale Omusana nga bwe gukyayaka mugutambuliremu mulyoke mufuuke abaana b’omusana.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’agenda n’abeekweka.
“Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.
Abo abalina okutegeera balyakaayakana ng’okumasamasa kw’omu bbanga; n’abo abakyusa abangi okudda eri obutuukirivu, balyakaayakana ng’emmunyeenye emirembe n’emirembe.
Ekiro kiyise, obudde bunaatera okukya, noolwekyo tweyambulemu ebikolwa eby’ekizikiza, twambale ebyokulwanyisa eby’omusana.
Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bw’ali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, n’omusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna.
Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala eky’okumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.