Ennyiriri za Bayibuli ku Omwagalwa

Ennyiriri za Bayibuli 7 ku Omwagalwa okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abakkolosaayi 3:12

Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza.

02 1 Yokaana 3:1

Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera.

03 Abaruumi 1:7

Mpandikira abo bonna ababeera mu Ruumi, abaagalwa ba Katonda, abaayitibwa okuba abatukuvu. Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe, bibeerenga nammwe.

04 Abaefeso 1:6

Katonda tumutendereze olw’ekisa kye yatuwa obuwa mu Mwana, gw’ayagala ennyo.

05 Oluyimba 2:4

Yantwala ku kijjulo, n’okwagala kwe ne ku mmaamira.

06 Yeremiya 31:3

Mukama yatulabikira edda ng’agamba nti, “Nkwagadde n’okwagala okutaliggwaawo, kyenvudde nkusembeza gye ndi n’ekisa ekijjudde okwagala.

07 Ekyamateeka Olwokubiri 33:12

Bye yayogera ku Benyamini: “Omwagalwa wa Mukama Katonda abeerenga wanywevu, Katonda Ali Waggulu ng’amwebulungudde bulijjo, omwagalwa anaagalamiranga wakati ku bibegabega bye.”

Emitwe egikwatagana