Ennyiriri za Bayibuli ku Obwakabona obwa Kabaka

Ennyiriri za Bayibuli 6 ku Obwakabona obwa Kabaka okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 1 Peetero 2:9

Naye mwe muli kika kironde, bakabona bw’obwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda bennyini. Mwalondebwa mulyoke mutende ebirungi bya Katonda eyabaggya mu kizikiza n’abayingiza mu butangaavu bwe obutenkanika.

02 Okuva 19:6

Munaabeeranga obwakabaka bwange obwa bakabona, era eggwanga ettukuvu.’ Ebyo bye bigambo by’ojja okutegeeza abaana ba Isirayiri.”

03 Okubikkulirwa 1:6

n’atufuula obwakabaka bw’obwakabona bwa Katonda, Kitaawe. Ekitiibwa n’obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n’emirembe. Amiina.

04 1 Peetero 2:5

Mujje gy’ali nga muli ng’amayinja amalamu, muzimbibwemu ennyumba ey’omwoyo. Mulyoke mube bakabona be abaweereza ssaddaaka ey’omwoyo, esiimibwa Katonda mu Yesu Kristo Mukama waffe.

05 Okubikkulirwa 5:10

N’obafuula obwakabaka ne bakabona ba Katonda okumuweerezanga, era be balifuga ensi.”

06 Abaebbulaniya 13:15

Kale mu Yesu tuweerayo bulijjo ssaddaaka ey’okutendereza Katonda, kye kirabo eky’emimwa, nga twatula erinnya lye.

Emitwe egikwatagana