Ennyiriri za Bayibuli ku Amagoba Amalongoofu

Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Amagoba Amalongoofu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Engero 13:11

Ensimbi enkumpanye ziggwaawo, naye ezijja empolampola zeeyongera obungi.

02 Engero 16:8

Akatono akafune mu butuukirivu, kasinga obugagga obungi obufune mu bukyamu.

03 Engero 20:23

Ebipima ebikyamu bya muzizo eri Mukama, ne minzaani ez’obulimba tezisanyusa.

04 Ebyabaleevi 19:35-36

“Temubangamu kyekubiira nga mupima obuwanvu, oba obuzito, oba obungi bw’ebintu. Mubanga ne minzaani entuufu, n’amayinja agapima obuzito amatuufu, n’ekipima ebikalu (efa) ekituufu, n’ekipima ebiyiikayiika ng’amazzi (ini) ekituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri.

05 Engero 28:6

Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu, asinga omugagga ow’amakubo amakyamu.

06 Engero 11:1

Minzaani eteri ya mazima ya muzizo eri Mukama, naye ebipimo ebituufu bye bimusanyusa.

07 Engero 10:2

Eby’obugagga ebifuniddwa mu makubo amakyamu tebirina kye bigasa, naye abatuukirivu banunulwa okuva mu kufa.

08 Yeremiya 17:11

Ng’enkwale bw’eyalula amagi geetebiikanga, bw’atyo bw’abeera oyo afuna obugagga mu makubo amakyamu; obulamu bwe nga bwakabeerawo kaseera buseera, bulimuggwaako era oluvannyuma alizuulibwa nga musiru.

09 Ebyabaleevi 19:13

“Muliraanwa wo tomujooganga so tomunyagangako bibye. “Tosulanga na mpeera ya mupakasi wo n’omala nayo ekiro kyonna okutuusa enkya nga tonnagimusasula.

Emitwe egikwatagana