Ennyiriri za Bayibuli ku Awonya ab'Emitima Egimenyese
Ennyiriri za Bayibuli 6 ku Awonya ab'Emitima Egimenyese okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese, era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.
Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze, kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi, antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese. Okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe bateebwe bave mu makomera.
Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo. Omutima ogumenyese era oguboneredde, Ayi Katonda, toogugayenga.
“Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.
Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe, ow’erinnya ettukuvu nti, “Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza, okuzzaamu amaanyi omwoyo gw’abakkakkamu, era n’ogw’abo ababoneredde.