Ennyiriri za Bayibuli ku Emirembe Gyonna ne Mukama
Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Emirembe Gyonna ne Mukama okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.
Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’eddoboozi ery’omwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, n’ekkondeere lya Katonda, n’abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira,
“Kitange, bano be wampa njagala mbeere nabo we ndi balyoke bategeere ekitiibwa kyange kye wampa kubanga wanjagala, ng’ensi tennatondebwa.
Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga lyogera okuva mu ntebe ey’obwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe.
Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange ennaku zonna ez’obulamu bwange; nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama, ennaku zonna.
Bwe ndimala okubateekerateekera ekifo ndikomawo, ne mbatwala gye ndi, Nze gye ndi nammwe gye muba mubeera.
Teribaayo kiro, noolwekyo ettabaaza oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda y’anaabaakiranga era banaafuganga emirembe n’emirembe.
Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo; gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo. Mu kuteesa kwo onkulembera, era olintuusa mu kitiibwa.
Noolwekyo tuli bagumu era tuli basanyufu, wakiri okuva mu mibiri guno ne tubeera ewaffe mu ggulu ne Mukama waffe.
Nkwatiddwa buli luuyi; nneegomba okuva mu bulamu buno ŋŋende mbeere ne Kristo, kubanga ekyo kisingako obulungi.
Ensi n’okwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe gyonna.