Ennyiriri za Bayibuli ku Okutya Abantu
Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Okutya Abantu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Okutya omuntu kuleeta ekyambika, naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.
“Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi. Mmwe baani abatya omuntu alifa, n’omwana w’omuntu ali ng’omuddo,
Kale kaakano nkolerera kumatiza bantu oba kusiimibwa Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa nnali nkyagezaako okusanyusa abantu, sandibadde muddu wa Kristo.
Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya. Abantu bayinza kunkolako ki?
Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena.
Kubanga baayagala ekitiibwa ekibaweebwa abantu okusinga ekitiibwa kya Katonda.
naye nga bwe twasaanyizibwa Katonda n’atwesiga n’Enjiri, bwe twogera bwe tutyo, si ng’abaagala okusanyusa abantu, wabula tusiimibwe Katonda, oyo akebera ebirowoozo by’emitima gyaffe.
Naye Peetero n’abatume ne baddamu nti, “Kitugwanira okugondera Katonda okusinga okugondera abantu.