Ennyiriri za Bayibuli ku Okutuukirira mu Kristo
Ennyiriri za Bayibuli 15 ku Okutuukirira mu Kristo okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
era mmwe nga muli mu ye, mwatuukirira mu ye, oyo Kristo omutwe gw’obufuzi bwonna n’obuyinza bwonna.
Kubanga mu Kristo okutuukiriza kwonna okw’Obwakabaka mwe kulabikira mu mubiri,
Kubanga mu maanyi g’obwakatonda bwe, mwe twaweerwa ebintu byonna olw’obulamu buno n’okutya Katonda mu kumanya oyo eyatuyita olw’ekitiibwa kye n’obulungi bwe ye.
Njagala mutegeere okwagala kwa Kristo okusukkiridde okutegeera kwonna, mulyoke musobole okutegeerera ddala Katonda bw’ali.
Kubanga olw’ekiweebwayo ekyo ekimu, abaatukuzibwa yabawa obutuukirivu obw’emirembe gyonna.
Kristo oyo gwe tutegeeza nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna era nga tulabula buli omu, tulyoke twanjule buli muntu eri Katonda ng’atuukiridde mu Kristo.
Nkakasiza ddala nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu.
abawe buli kirungi kyonna kye mwetaaga okubasobozesa okukola by’ayagala, era atukozese ebisiimibwa mu maaso ge ng’ayita mu Yesu Kristo. Aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
Kyokka ku bw’oyo muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, bwe butuukirivu, n’okutukuzibwa, n’okununulibwa,
Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, atuwadde mu Kristo buli mukisa gwonna ogw’omwoyo oguva mu ggulu.
nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era y’akutuukiriza, olw’essanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku luuyi olwa ddyo olw’entebe ya Katonda.
Kale ne Katonda wange alibawa buli kye mwetaaga ng’obugagga bwe obungi obuli mu Kristo Yesu bwe buli.
Nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga mu ye, nga musimbibwa era nga mukuzibwa mu ye, era nga munywezebwa mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, nga mujjudde okwebazanga.
Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.
Katonda ow’emirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe n’omubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olw’okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo. Oyo eyabayita mwesigwa era alikituukiriza.