Ennyiriri za Bayibuli ku Tulimulaba

Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Tulimulaba okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 1 Yokaana 3:2

Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, naye tetumanyi bwe tuliba. Kyokka tumanyi nti bw’alirabika tulifaanana nga ye, kubanga tulimulabira ddala nga bw’ali.

02 1 Abakkolinso 13:12

Kaakano tulaba kifaananyi bufaananyi, ng’abali mu ndabirwamu eteraba bulungi; naye tulirabira ddala bulungi amaaso n’amaaso. Kaakano mmanyiiko kitundu butundu, naye luli ndimanyira ddala byonna, mu bujjuvu.

03 Okubikkulirwa 22:4

era banaalabanga amaaso ge, n’erinnya lye liriwandiikibwa mu byenyi byabwe.

04 Matayo 5:8

Balina omukisa abalina omutima omulongoofu, kubanga abo baliraba Katonda.

05 Yobu 19:25-26

Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu, era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi. Era ng’olususu lwange bwe luweddewo, kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda;

06 Okubikkulirwa 1:7

“Laba, ajja n’ebire, na buli liiso lirimulaba, n’abaamufumita balimulaba, era n’amawanga gonna ku nsi galimukungubagira.” Weewaawo. Amiina!

07 Zabbuli 17:15

Nze ndikulaba n’amaaso mu butuukirivu era ndimatira, bwe ndiraba obwenyi bwo nga nzuukuse.

08 2 Abakkolinso 3:18

Kaakano ffe ffenna, amaaso gaffe nga gabikuddwa, ekitiibwa kya Katonda kyakaayakana mu ffe ng’endabirwamu emulisa ekitiibwa kye ne tukyusiibwa okumufaanana okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, ekiva eri Mukama waffe, Mwoyo.

09 Yokaana 17:24

“Kitange, bano be wampa njagala mbeere nabo we ndi balyoke bategeere ekitiibwa kyange kye wampa kubanga wanjagala, ng’ensi tennatondebwa.

10 Abaebbulaniya 12:14

Mufubenga okuba n’emirembe n’abantu bonna, era mufubenga okuba abatukuvu, kubanga atali mutukuvu taliraba Mukama.

11 Abafiripi 3:21

Kale bw’alijja emibiri gyaffe gino eminafu egifa aligifuula ng’ogugwe ogw’ekitiibwa, ng’akozesa amaanyi okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.

12 Abakkolosaayi 3:4

Kristo atuwa obulamu, bw’alirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.

13 1 Basessaloniika 4:17

naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.

Emitwe egikwatagana