Ennyiriri za Bayibuli ku Okutambulira mu Makubo ge
Ennyiriri za Bayibuli 5 ku Okutambulira mu Makubo ge okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Kale nno, ggwe Isirayiri, kiki Mukama Katonda wo ky’akwetaagako wabula okutya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumwagalanga, n’okuweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna,
Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola. Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza, okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.
Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu; abatambulira mu mateeka ga Mukama. Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye, era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino ly’ekkubo, litambuliremu.”
Kale bwe tuba abalamu ku bw’Omwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kw’Omwoyo.