Ennyiriri za Bayibuli ku Okwewaayo eri Katonda

Ennyiriri za Bayibuli 5 ku Okwewaayo eri Katonda okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Yakobo 4:7

Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga.

02 Abaruumi 6:13

Temuwangayo bitundu byammwe eby’omubiri okukozesebwa ebitali bya butuukirivu eri ekibi, naye mweweereyo ddala eri Katonda, ng’abantu abalamu abaava mu bafu. Ebitundu byammwe eby’omubiri gwammwe bikozesebwe eby’obutuukirivu eri Katonda.

03 Yakobo 4:10

Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.

04 1 Peetero 5:6

Noolwekyo mwewombeeke wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi, naye alibagulumiza ng’obudde butuuse.

05 Abaruumi 12:1

Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olw’okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’omwoyo.

Emitwe egikwatagana