Ennyiriri za Bayibuli ku Okweweerayo

Ennyiriri za Bayibuli 5 ku Okweweerayo okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaruumi 12:1

Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olw’okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’omwoyo.

02 Abaggalatiya 2:20

kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange.

03 Matayo 16:24

Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Omuntu bw’ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka, yeetikke omusaalaba gwe alyoke angoberere.

04 Lukka 9:23

Era bonna n’abagamba nti, “Omuntu yenna ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka yeetikke omusaalaba gwe buli lunaku, angoberere!

05 Engero 23:26

Mwana wange mpa omutima gwo, n’amaaso go geekalirize amakubo gange,

Emitwe egikwatagana