Ennyiriri za Bayibuli ku Obugagga mu Ggulu

Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Obugagga mu Ggulu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Matayo 6:19-20

“Temweterekeranga byabugagga wano ku nsi kwe biyinza okwonoonebwa ennyenje n’obutalagge, n’ababbi kwe bayinza okubibbira. Naye mweterekerenga obugagga bwammwe mu ggulu gye butayinza kwonoonebwa nnyenje wadde obutalagge, n’ababbi gye batayinza kuyingira kububba.

02 Matayo 6:21

Kubanga obugagga bwo gye buli n’omutima gwo gye gunaabeeranga.”

03 Lukka 12:33-34

Mutunde ebintu byammwe, ensimbi ze muggyamu muzigabire abo abeetaaga, mwetungire ensawo ezitakaddiwa era mweterekere mu ggulu mu tterekero eritaggwaamu bintu, omubbi gy’atasembera wadde ennyenje gye zitayonoonera. Kubanga obugagga bwo gye buli, n’omutima gwo gye gunaabeeranga.

04 1 Timoseewo 6:18-19

bakole ebirungi, babe bagagga mu bikolwa ebirungi, nga bagabi, era abaagala okugabana n’abalala. Bwe batyo beeterekere obugagga obw’engeri eyo nga gwe musingi omulungi ogw’ebiseera ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu bwennyini.

05 Abakkolosaayi 3:1-2

Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi,

06 Matayo 6:24

“Tewali n’omu ayinza kuweereza bakulu babiri, kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona. ”

07 Lukka 12:21

“Bwe kityo bwe kiriba eri buli muntu eyeeterekera, so nga mwavu eri Katonda.”

08 1 Peetero 1:4

Bw’atyo n’atusuubiza omugabo mu busika, ogw’olubeerera ogutakyusa langi era ogutafuma, gw’atuterekedde mu ggulu.

09 Abaebbulaniya 11:26

Musa yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kisingira wala obugagga bw’e Misiri, kubanga yali asuubira empeera.

10 Abafiripi 3:8

Naye okusinga byonna, byonna mbiraba ng’okufiirwa, kubanga okutegeera Kristo Yesu Mukama wange, kusinga ebirala byonna. Olwa Kristo nafiirwa ebintu byonna, era mbiraba ng’ebisasiro, ndyoke ngobolole Kristo,

11 Matayo 13:44

“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’ekyobugagga ekyakwekebwa mu nnimiro omuntu omu bwe yakigwikiriza. Olw’essanyu lye yafuna n’agenda n’atunda bye yalina byonna, n’agula ennimiro eyo.

12 2 Abakkolinso 4:18

Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe.

13 Makko 10:21

Yesu n’amutunuulira enkaliriza, n’amwagala. N’amugamba nti, “Waliwo ekintu kimu kyokka ekikubulako, era kye kino: genda otunde ebintu byonna by’olina, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”

Emitwe egikwatagana