Ennyiriri za Bayibuli ku Okuzzibwa Obuggya
Ennyiriri za Bayibuli 12 ku Okuzzibwa Obuggya okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olw’okudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okw’amazima.
Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ng’emibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe ow’omunda adda buggya bulijjo.
Mufuuke baggya olw’Omwoyo afuga ebirowoozo byammwe,
n’atulokola, si lwa bikolwa eby’omu butuukirivu bye twakola, wabula olw’okusaasira kwe mu kunaazibwa okw’okuzaalibwa okw’omulundi ogwokubiri n’okufuulibwa abaggya olwa Mwoyo Mutukuvu,
Naye abo abalindirira Mukama baliddamu buggya amaanyi gaabwe, balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu; balidduka mbiro ne batakoowa, balitambula naye ne batazirika.
Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda, era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
Laba, nkola ekintu ekiggya! Kaakano kitandise okulabika, temukiraba? Nkola oluguudo mu ddungu ne ndeeta emigga mu lukoola.
Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo, tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo. Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya; n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.
ne mwambazibwa omuntu omuggya, nga mufuulibwa abaggya mu kifaananyi ky’oyo eyamutonda, ate ne mu kweyongera okumutegeera.
Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala; obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.
kale mwambulemu obulamu obw’omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba. Mufuuke baggya olw’Omwoyo afuga ebirowoozo byammwe, era mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu kutukuzibwa okw’amazima.
Noolwekyo omuntu yenna bw’abeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; eby’edda nga bigenze, laba ng’afuuse muggya.