Ennyiriri za Bayibuli ku Okutukuzibwa

Ennyiriri za Bayibuli 7 ku Okutukuzibwa okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 1 Basessaloniika 4:3

Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi,

02 1 Peetero 1:15-16

Kale, nga Katonda eyabayita bw’ali omutukuvu, nammwe mubeerenga batukuvu mu byonna bye mukola. Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Mubenga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu.”

03 Yokaana 17:17

Obatukuze mu mazima; ekigambo kyo ge mazima.

04 Abaebbulaniya 12:14

Mufubenga okuba n’emirembe n’abantu bonna, era mufubenga okuba abatukuvu, kubanga atali mutukuvu taliraba Mukama.

05 2 Timoseewo 2:21

Noolwekyo buli eyeewala ebintu ebyo ebitali bya kitiibwa anaabanga ow’ekitiibwa, atukuziddwa, asaanira okukozesebwa mukama we, olw’omulimu omulungi.

06 2 Basessaloniika 2:13

Naye kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, abooluganda abaagalwa mu Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye, ng’abatukuza olw’okukola kw’Omwoyo n’okukkiriza amazima,

07 Abaruumi 6:22

Naye kaakano obanga mwasumululwa mu kibi, ne mufuuka baddu ba Katonda, ebivaamu bibatuusa ku kutukuzibwa, n’enkomerero bwe bulamu obutaggwaawo.

Emitwe egikwatagana