Ennyiriri za Bayibuli ku Okuva ku Mata Okutuuka ku Mmere Enkalubo
Ennyiriri za Bayibuli 12 ku Okuva ku Mata Okutuuka ku Mmere Enkalubo okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Nabanywesa mata so si mmere enkalubo, kubanga mwali temunnagisobola. Naye era ne kaakano temunnagisobola,
Kubanga omuntu bw’aba ng’akyanywa mata, aba akyali mwana muto. Aba tannategeera kigambo kikwata ku by’obutuukirivu. Naye emmere enkalubo ya bakulu, abeeyigirizza okwawulanga ekirungi n’ekibi.
Ng’abaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata ag’omwoyo, muganywenga mukule era mulokolebwe,
Tuteekwa okulekeraawo okweyisa ng’abaana abato, nga tuyuuguumizibwa amayengo nga tutwalibwa buli muyaga ogw’okuyigiriza okw’abantu abakuusa, mu nkwe olw’okugoberera enteekateeka ey’obulimba.
Bwe nnali omuto, nayogeranga ng’omuto, nalowoozanga ng’omuto, ne byonna nga mbiraba mu ngeri ya kito. Naye bwe nakula ne ndeka eby’ekito.
Noolwekyo tulekeraawo okuyiga ebintu bya Kristo ebisookerwako, tukule mu by’omwoyo. Tulekeraawo okwogera ku bisookerwako byokka, ng’okwenenya ebikolwa ebireeta okufa, by’ebikolwa eby’obulombolombo, naye tuteekwa n’okuba n’okukkiriza mu Katonda.
Abooluganda, temulowooza bya kito. Mube ng’abaana abato ku bikwata ku kukola ebibi, mube bakulu mu kulowooza kwammwe.
Mweyongere okukula mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano n’emirembe gyonna. Amiina.
Kristo oyo gwe tutegeeza nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna era nga tulabula buli omu, tulyoke twanjule buli muntu eri Katonda ng’atuukiridde mu Kristo.
Noolwekyo ffe ffenna abatuukiridde ekyo kye tusaana okulowoozanga, naye obanga mulowooza bulala, na kino Katonda alikibabikkulira.
Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, ng’oli mukozi akola ebitakuswaza, era nga weekuumira mu kkubo ery’obubaka obw’amazima.
Newaakubadde nga kaakano mwandibadde musobola okuyigiriza abalala, kyetaaga okuddamu okubayigiriza, ebintu ebya bulijjo eby’amazima ebikwata ku kigambo kya Katonda. Mwetaaga mata so si mmere enkalubo ey’abakulu.