Ennyiriri za Bayibuli ku Okutabukatabuka

Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Okutabukatabuka okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 1 Abakkolinso 14:33

kubanga Katonda si wa luyoogaano, wabula wa mirembe. Kale nga bwe kiri mu Kkanisa z’abatukuvu zonna,

02 Yakobo 3:16

Kubanga buli awabeera obuggya n’okwefaako wekka, wabeerawo okutabukatabuka era n’ebikolwa ebirala ebibi byonna.

03 Yakobo 1:5

Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.

04 Isaaya 26:3

Mukama alikuuma mirembe oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.

05 Engero 3:5-6

Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna, so teweesigamanga ku magezi go gokka. Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna, naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.

06 Yokaana 14:27

Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egy’ensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.

07 Zabbuli 32:8

Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga; nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.

08 Yeremiya 29:11

Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso,” bw’ayogera Mukama.

09 Abakkolosaayi 2:2-3

Ekyo nkikola mbazzeemu amaanyi era bagattibwe wamu mu kwagalana, ne mu kutegeerera ddala obugagga bwonna obuli mu kumanya ekyama kya Katonda, ye Kristo. Mu Kristo mwe mukwekeddwa eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya.

Emitwe egikwatagana