Ennyiriri za Bayibuli ku Amagezi Amalamu
Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Amagezi Amalamu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, n’okwagala era n’okwegendereza.
Mukama alikuuma mirembe oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.
N’emirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe n’emitima gyammwe mu Kristo Yesu.
So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olw’okudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okw’amazima.
na buli kintu ekigulumivu ekyekuluntaza okusinga amagezi ga Katonda, era nga tujeemulula buli kirowoozo, kigondere Kristo,
Eky’enkomerero, abooluganda, mulowoozenga ku buli kya mazima, na buli ekisiimibwa na buli kya butuukirivu, na buli kirongoofu, na buli kyagalibwa, na buli kyogerwako obulungi, era bwe wabangawo ekirungi oba bwe wabangawo ettendo, ebyo mubirowoozengako.
kubanga Katonda si wa luyoogaano, wabula wa mirembe. Kale nga bwe kiri mu Kkanisa z’abatukuvu zonna,
Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi,
Noolwekyo mwetegeke nga muli bateefu, nga mutadde emitima gyammwe ku kisa kya Katonda ekiribaweebwa, Yesu Kristo bw’alirabika.