Ennyiriri za Bayibuli ku Kristo Essuubi Lyaffe

Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Kristo Essuubi Lyaffe okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 1 Timoseewo 1:1

Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda Omulokozi waffe ne Kristo Yesu essuubi lyaffe, bwe baalagira,

02 Abakkolosaayi 1:27

Katonda bw’atyo bwe yasiima, alyoke amanyise Abaamawanga obugagga obw’ekitiibwa ky’ekyama ekyo. Ekyama ekyo ye Kristo abeera mu mmwe, era ly’essuubi ery’ekitiibwa.

03 1 Peetero 1:3

Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe. Olw’okusaasira kwe okungi twazaalibwa mu bulamu obulina essuubi omulundi ogwokubiri, olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu.

04 Tito 2:13

nga tulindirira olunaku lwe tusuubira, n’okulabika kw’ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo;

05 Abaruumi 15:13

Kaakano Katonda w’okusuubira, abajjuze essanyu lyonna n’emirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi ery’amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.

06 Abaruumi 5:2

era olw’okukkiriza mu Kristo tufunye ekisa kya Katonda mwe tubeera, era mwe twenyumiririza, nga tusuubira ekitiibwa kya Katonda.

07 Abaebbulaniya 6:19-20

Essuubi eryo lye linywereza ddala emmeeme zaffe ng’ennanga bw’enyweza eryato. Essuubi eryo lituyingiza munda w’eggigi. Yesu eyatusooka yo, eyo gye yayingira ku lwaffe, bwe yafuuka Kabona Asinga Obukulu ow’emirembe gyonna, ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.

08 Abaefeso 2:12-13

nga mu biro biri temwamanya Kristo. Temwabalirwa mu ggwanga lya Isirayiri, era ng’Abaamawanga, temwalina mugabo mu ndagaano ya Katonda ey’ekisuubizo. Mwali wala ne Katonda, nga n’essuubi temulina. Naye kaakano mu Kristo Yesu, mmwe abaali ewala mwasembezebwa olw’omusaayi gwa Kristo.

09 Abakkolosaayi 1:5

olw’essuubi eryabategekerwa mu ggulu, lye mwawulirako mu kigambo eky’amazima, ye Enjiri.

10 Abaruumi 8:24

Twalokolebwa lwa ssuubi eryo. Naye essuubi erirabibwa si ssuubi; kubanga ani asuubira ky’alabako?

11 1 Peetero 1:21

Mu ye, mwe mwayita okukkiriza Katonda eyamuzuukiza mu bafu, n’amuwa ekitiibwa, era okukkiriza kwammwe n’okusuubira kwammwe kyebivudde binywerera ku Katonda.

Emitwe egikwatagana