Ennyiriri za Bayibuli ku Essuubi Erinywevu

Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Essuubi Erinywevu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaebbulaniya 6:19

Essuubi eryo lye linywereza ddala emmeeme zaffe ng’ennanga bw’enyweza eryato. Essuubi eryo lituyingiza munda w’eggigi.

02 Abaebbulaniya 6:18

Katonda yakikola bw’atyo, okutulaga ebintu bibiri ebitajjulukuka, nti akuuma ekisuubizo kye awamu n’ekirayiro kye. Talimba. Noolwekyo ffe abaddukira gy’ali okutulokola, tusaana okuba abagumu kubanga talirema kutuwa ebyo bye yasuubiza.

03 Abaruumi 8:24-25

Twalokolebwa lwa ssuubi eryo. Naye essuubi erirabibwa si ssuubi; kubanga ani asuubira ky’alabako? Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira n’okugumiikiriza.

04 Abakkolosaayi 1:5

olw’essuubi eryabategekerwa mu ggulu, lye mwawulirako mu kigambo eky’amazima, ye Enjiri.

05 1 Peetero 1:3

Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe. Olw’okusaasira kwe okungi twazaalibwa mu bulamu obulina essuubi omulundi ogwokubiri, olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu.

06 Abaebbulaniya 6:11

Era twagala buli omu ku mmwe yeeyongere okulaganga obunyiikivu obwo okutuusiza ddala ku nkomerero, lwe mulifuna ekyo kye musuubira.

07 Zabbuli 62:5-6

Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka; kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange. Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange, ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga.

08 Okukungubaga 3:24

Njogera mu mutima gwange nti, “ Mukama gwe mugabo gwange, kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.”

09 Zabbuli 33:20-21

Tulindirira Mukama nga tulina essuubi, kubanga ye mubeezi waffe era ye ngabo yaffe. Mu ye emitima gyaffe mwe gijaguliza, kubanga twesiga erinnya lye ettukuvu.

10 Abaruumi 5:5

Era essuubi teritukwasa nsonyi kubanga Katonda atuwadde Mwoyo Mutukuvu ajjuza emitima gyaffe okwagala kwe.

11 Abaebbulaniya 10:23

Kale tunyweze essuubi lye twatula nga tetusagaasagana, kubanga eyasuubiza mwesigwa,

Emitwe egikwatagana