Ennyiriri za Bayibuli ku Essuubi

Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Essuubi okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaruumi 15:13

Kaakano Katonda w’okusuubira, abajjuze essanyu lyonna n’emirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi ery’amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.

02 Abaruumi 5:5

Era essuubi teritukwasa nsonyi kubanga Katonda atuwadde Mwoyo Mutukuvu ajjuza emitima gyaffe okwagala kwe.

03 Abaebbulaniya 6:19

Essuubi eryo lye linywereza ddala emmeeme zaffe ng’ennanga bw’enyweza eryato. Essuubi eryo lituyingiza munda w’eggigi.

04 Yeremiya 29:11

Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso,” bw’ayogera Mukama.

05 Abaruumi 8:24-25

Twalokolebwa lwa ssuubi eryo. Naye essuubi erirabibwa si ssuubi; kubanga ani asuubira ky’alabako? Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira n’okugumiikiriza.

06 Zabbuli 39:7

Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.

07 Okukungubaga 3:25-26

Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi, eri oyo amunoonya. Kirungi omuntu okulindirira obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.

08 1 Peetero 1:3

Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe. Olw’okusaasira kwe okungi twazaalibwa mu bulamu obulina essuubi omulundi ogwokubiri, olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu.

Emitwe egikwatagana