Ennyiriri za Bayibuli ku Obusungu

Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Obusungu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Yakobo 1:19-20

Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga. Kubanga obusungu bw’omuntu tebumuweesa butuukirivu bwa Katonda.

02 Abaefeso 4:26-27

“Bwe musunguwalanga mwekuume muleme kwonoona.” Temuzibyanga budde nga mukyasunguwadde. Temuwanga Setaani bbanga.

03 Engero 15:1

Okuddamu n’eggonjebwa kumalawo ekiruyi, naye ekigambo eky’obukambwe kisaanuula obusungu.

04 Engero 14:29

Omuntu omugumiikiriza aba n’okutegeera kungi, naye oyo asunguwala amangu ayolesa obusirusiru.

05 Abakkolosaayi 3:8

Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, n’ekiruyi, n’ettima, n’okuvvoola, n’okunyumya emboozi ey’ensonyi.

06 Engero 16:32

Omuntu omugumiikiriza asinga omutabaazi, n’oyo afuga obusungu bwe akira awamba ekibuga.

07 Engero 29:11

Omusirusiru alaga obusungu bwe bwonna, naye omuntu ow’amagezi abuziyiza n’abukkakkanya.

08 Omubuulizi 7:9

Tosunguwalanga mangu nga waliwo akusokaasoka, kubanga obusungu bubeera munda y’abasirusiru.

09 Zabbuli 37:8

Tonyiiganga era weewale ekiruyi; teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.

10 Engero 19:11

Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala, era kiba kya kitiibwa obutafa ku bye bamusobezza.

11 Yakobo 4:1

Kiki ekireeta entalo n’okulwanagana mu mmwe? Si lwa kubanga mu mitima gyammwe mujjudde ebintu bingi nnyo ebibi bye mwagala?

12 Abaruumi 12:19

abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” bw’ayogera Mukama.

13 Engero 22:24-25

Tokwananga muntu wa busungu, oba okuyitanga n’omuntu anyiiganyiiga amangu, oleme okuyiga amakubo ge ne weesuula mu mitawaana.

14 Matayo 5:22

Naye mbagamba nti Buli alisunguwalira muganda we aliwozesebwa. Na buli anaagambanga muganda we nti, ‘Laka,’ anaatwalibwa mu lukiiko lw’abakulembeze b’Abayudaaya n’awozesebwa. Na buli anaagambanga nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro ogwa ggeyeena.

Emitwe egikwatagana