Ennyiriri za Bayibuli ku Okukkirizibwa mu Mwagalwa
Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Okukkirizibwa mu Mwagalwa okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Katonda tumutendereze olw’ekisa kye yatuwa obuwa mu Mwana, gw’ayagala ennyo.
Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okw’omubiri wabula ne bagoberera Omwoyo.
Edda temwali kumpi ne Katonda, era ebirowoozo byammwe n’ebikolwa byammwe ebibi bye byabalabisa ng’abakyawa Katonda. Naye kaakano mutabaganye ne Kristo olw’okufa kwe, abanjuleyo mu maaso ga Katonda nga muli batukuvu era abataliiko bbala wadde ekyokunenyezebwa.
Noolwekyo mwanirizaganenga, nga Kristo bwe yabaaniriza olw’ekitiibwa kya Katonda.
Buli muntu Kitange gw’ampa alijja gye ndi, era buli ajja gye ndi sirimugobera bweru.
kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange.
Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.
Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera.
Kubanga kaakano mwenna muli baana ba Katonda olw’okukkiriza Yesu Kristo,
Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bw’oyo tumukoowoola nti, “ Aba, Kitaffe.” Omwoyo yennyini akakasiza wamu n’omwoyo waffe nga bwe tuli abaana ba Katonda.
Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye.
Naye kaakano mu Kristo Yesu, mmwe abaali ewala mwasembezebwa olw’omusaayi gwa Kristo.
Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo n’atufiirira.