Ennyiriri za Bayibuli ku Omuguwa ogw'Emiyuula Esatu

Ennyiriri za Bayibuli 10 ku Omuguwa ogw'Emiyuula Esatu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Omubuulizi 4:12

Omu awangulwa mangu, kyokka ababiri bayinza okwerwanako. Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.

02 Omubuulizi 4:9

Ababiri basinga omu, kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.

03 Omubuulizi 4:10

Kubanga singa omu agwa, munne amuyimusa. Naye zimusanze oyo ali obw’omu, bw’agwa tabaako amuyimusa.

04 Abaruumi 12:10

nga mwagalana mu kwagala okw’abooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa,

05 Abafiripi 2:2

mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala, n’omwoyo gumu, nga mulowooza bumu,

06 Omubuulizi 4:9-12

Ababiri basinga omu, kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe. Kubanga singa omu agwa, munne amuyimusa. Naye zimusanze oyo ali obw’omu, bw’agwa tabaako amuyimusa. Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma; naye oyo ali obw’omu, ayinza atya okubuguma? Omu awangulwa mangu, kyokka ababiri bayinza okwerwanako. Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.

07 Amosi 3:3

Abantu ababiri bayinza okutambulira awamu wabula nga bakkiriziganyizza?

08 Matayo 18:20

Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”

09 Abaruumi 15:5-6

Kaakano Katonda w’okugumiikiriza era azaamu amaanyi, abawe okulowoozanga obumu buli omu eri munne mu Kristo Yesu, mu mwoyo gumu n’eddoboozi limu mulyoke mugulumizenga Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo.

10 1 Abakkolinso 1:10

Kaakano mbeegayirira abooluganda, mu Iinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukkiriziganyenga mwekka na mwekka muleme okwawukananga. Naye mube n’omutima gumu n’endowooza emu.

Emitwe egikwatagana