Yeremiya 47
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Bafirisuuti nga Falaawo tannalumba Gaza nga kigamba nti:
2Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba amazzi agatumbira mu bukiikakkono, galifuuka omugga ogwanjaala. Galyanjaala ku nsi ne mu bibuga byonna ebigirimu n’ababituulamu. Abantu balikaaba; bonna abali mu nsi baliwowoggana.
3Olw’emisinde gy’embalaasi ezidduka n’okufuumuuka kw’amagaali g’omulabe era n’okuwuuma kwa nnamuziga, bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe, emikono gyabwe gya kulebera.
4Kubanga olunaku lutuuse okuzikiriza Abafirisuuti bonna, n’okusalako bonna abandisigaddewo abandiyambye Ttuulo ne Sidoni. Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti abaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli.
5Gaza alimwa omutwe gwe ng’akungubaga. Asukulooni alisirisibwa. Ggwe eyasigala mu kiwonvu, olituusa ddi okwesalaasala?
6“ ‘Ayi ggwe ekitala kya Mukama Katonda, okaaba, obudde bunaatuuka ddi owummule? Ddayo mu kiraato kyo sirika teweenyeenya.’
7Naye kiyinza kitya okuwummula nga Mukama y’akiragidde, ng’akiragidde okulumba Asukulooni n’olubalama lw’ennyanja?”
Yeremiya
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0