Yeremiya 15

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Musa ne Samwiri ne bwe bandiyimiridde okunneegayirira, sandisonyiye bantu bano. Bagobe okuva mu maaso gange, banviire.

2Era bwe bakubuuza nti, ‘Tunaagenda wa?’ “Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti, Ab’okuttibwa bagenda kuttibwa, n’ab’ekitala bafe ekitala, n’ab’enjala bafe enjala, n’ab’okuwambibwa bawambibwe.’

3“Ndiweereza engeri nnya ez’okubazikiriza,” bw’ayogera Mukama. “Ekitala kya kufumita, embwa zikulule, ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko zirye n’okuzikiriza.

4Era ndibawaayo babeetamwe eruuyi n’eruuyi mu bwakabaka bwonna obw’omu nsi olw’ekyo Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda kye yakola mu Yerusaalemi.

5“Ani alikukwatirwa ekisa ggwe Yerusaalemi? Oba ani alikukungubagira? Oba ani alikyama okubuuza ebikufaako?

6Mwanneegaana,” bw’ayogera Mukama. “Temutya kudda nnyuma. Noolwekyo mbagololeddeko omukono gwange ne mbazikiriza. Sikyasobola kukukwatirwa kisa.

7Era ndibakuŋŋunta n’ekitiiyo eky’amannyo mu miryango gy’ebibuga eby’omu nsi. Ndizikiriza abantu bange ne mbamalawo kubanga tebaaleka makubo gaabwe.

8Bannamwandu beeyongedde obungi okusinga n’omusenyu gw’ennyanja. Mu ttuntu mbaleetedde omuzikiriza amalewo ababazaalira abalenzi abato. Mbakubiddewo obubalagaze n’entiisa.

9Eyazaala omusanvu ayongobedde, awejjawejja. Enjuba ye egudde nga bukyali misana, amaanyi gamuwedde, ensonyi zimukutte, awuunze, awuubadde. N’abo abawonyeewo ndi wa kubasogga ekitala, mu maaso ga balabe baabwe,” bwayogera Mukama.

10Zinsanze, mmange lwaki wanzaala omuntu eggwanga lyonna gwe lirwanyisa ne likuluusanya? Siwolanga wadde okweyazika, kyokka buli muntu ankolimira.

11Mukama agamba nti, “Ddala ndikununula olw’ekigendererwa ekirungi, ddala ndireetera abalabe bo okukwegayirira, mu biseera eby’okuluma obujiji, mu biseera eby’akabi.

12“Omusajja ayinza okumenya ekikomo oba ekyuma eky’omu bukiikakkono?

13“Ndiwaayo eby’obugagga byo n’ebintu byo eby’omuwendo ennyo binyagibwe awatali kusasulwa, olw’ebibi byo byonna ebikoleddwa mu ggwanga lyonna.

14Ndibafuula abasibe b’abalabe bammwe mu ggwanga lye mutamanyi, kubanga obusungu bwange bwakukoleeza omuliro ogunaabookya gubamalewo.”

15Ayi Mukama ggwe omanyi byonna. Nzijukira ondabirire. Ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya. Mu kugumiikiriza kwo okunene tontwala. Lowooza ku ngeri gye mbonyeebonye ku lulwo.

16Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya, byali ssanyu era okujaguza kw’omutima gwange. Kubanga mpitibwa linnya lyo, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye.

17Situulangako mu kuŋŋaaniro ly’abo ab’ebinyumu era sibeerangako mu biduula nabo. Natuulanga nzekka kubanga naliko omukono gwo, era wandeetera okwekyawa.

18Lwaki okulumwa kwange tekukoma era n’ekiwundu kyange ne kitawona? Onomberera ng’akagga akalimbalimba ng’ensulo ekalira?

19Noolwekyo kino Mukama ky’agamba nti, “Bwe muneenenya, ndibakomyawo musobole okumpeereza; bwe mulyogera ebigambo ebisaana so si ebitasaanidde, mulibeera boogezi bange. Leka abantu bano be baba bajja gy’oli, so si ggwe okugenda gye bali.

20Ndikufuula ekisenge eri abantu bano, ekisenge ekinywezebbwa eky’ekikomo. Balikulwanyisa naye tebalikuwangula, kubanga ndi naawe, okukununula, n’okukulokola,” bw’ayogera Mukama.

21“Ndikununula okuva mu mukono gw’abakozi b’ebibi era n’enkuggya mu mukono gw’abasajja abakambwe,” bw’ayogera Mukama.

Yeremiya

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0