Yeremiya 10

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Muwulire ekigambo Katonda ky’abagamba, mmwe ennyumba ya Isirayiri.

2Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Temugobereranga makubo g’amawanga oba okweraliikirira obubonero obw’oku ku ggulu, kubanga amawanga ge byeraliikirira.

3Kubanga empisa ez’amawanga tezigasa; batema omuti mu kibira, omubazzi n’aguyooyoota n’ebyuma bye.

4Bagunyiriza ne ffeeza ne zaabu, bagukomerera n’enninga n’ennyondo guleme okunyeenyanyeenya.

5Bakatonda bafaanana nga ssemufu mu nnimiro y’ebibala, era tebasobola kwogera kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula. Tobatya, tebayinza kukukola kabi konna, wadde okukola akalungi n’akamu.”

6Tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama Katonda. Oli mukulu, era erinnya lyo ly’amaanyi nnyo.

7Ani ataakutye, Ayi Kabaka w’amawanga? Kubanga kino kye kikugwanira. Kubanga mu bagezigezi bonna bannaggwanga ne mu bwakabaka bwabwe bwonna tewali ali nga ggwe.

8Bonna tebalina magezi basirusiru, abo abayigira ku bakatonda ababajje mu miti.

9Ffeeza eyaweesebwa ey’empewere eggyibwa e Talusiisi, ne zaabu eva e Yufazi, ffundi n’omuweesi wa zaabu bye bakoze byambazibwa engoye eza kaniki ne z’effulungu. Gino gyonna mirimu gy’abasajja abakalabakalaba.

10Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu, era Kabaka ow’emirembe gyonna. Bw’asunguwala, ensi ekankana, amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.

11“Bw’oti bw’oba obagamba nti, ‘Bakatonda abataakola ggulu na nsi ba kuzikirira bave ku nsi ne wansi w’eggulu.’ ”

12Mukama yakola ensi n’amaanyi ge, n’atonda ebitonde byonna n’amagezi ge, era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu.

13Bw’afulumya eddoboozi lye, amazzi agali mu bire gawuluguma, asobozesa ebire okusituka nga biva ku nkomerero y’ensi. Amyansisa eggulu mu nkuba, era n’aggya empewo mu mawanika ge.

14Buli muntu talina magezi era taliimu kutegeera; buli muweesi wa zaabu aswala olw’ekifaananyi ky’akoze. Kubanga ebifaananyi bye ebisaanuuse bulimba, era tebiriimu bulamu.

15Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.

16Oyo Katonda Omugabo gwa Yakobo tali ng’ebyo, ye Mutonzi w’ebintu byonna, era owa Isirayiri, eggwanga ery’omugabo gwe, Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.

17Mukuŋŋaanye ebyammwe muve mu nsi, mmwe abazingiziddwa.

18Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba nfuumuula abantu mbaggye mu nsi eno, era ndibaleetako ennaku balyoke bawambibwe.”

19Zinsanze nze olw’ekiwundu kyange ekinnuma ennyo. Naye ate ne ŋŋamba nti, “Eno ndwadde yange, nteekwa okugigumira.”

20Eweema yange eyonooneddwa, era emiguwa gyonna gikutuse, abaana bange bandese, tewakyali. Tewali n’omu asigaddewo kaakano kuzimba weema yange wadde okuzimba ekigango kyange.

21Kubanga abasumba bafuuse ng’ensolo tebakyebuuza ku Mukama. Noolwekyo tebakulaakulana era endiga zaabwe zonna zisaasaanye.

22Wuliriza! Amawulire gatuuse, waliwo akeegugungo ak’amaanyi okuva mu nsi ey’omu bukiikakkono, kajja kufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ebisulo by’ebibe.

23Mmanyi Ayi Mukama Katonda ng’obulamu bw’omuntu si bubwe, omuntu si y’aluŋŋamya amakubo ge.

24Nnuŋŋamya, Mukama Katonda naye mu kigera ekisaanidde, si mu busungu bwo, si kulwa ng’onfuula ekitaliimu.

25Yiwa obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi, agatakutwala ng’ekikulu, ku bantu abatakoowoola linnya lyo. Kubanga bamazeewo Yakobo, bamuliiridde ddala era ne boonoona ensi ye.

Yeremiya

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0