Yeremiya 13
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda ogule olukoba olwa linena olwesibe mu kiwato kyo, naye tolunnyikanga mu mazzi.”
2Bwe ntyo ne neegulira olukoba, nga Mukama bwe yandagira, ne ndwesiba mu kiwato kyange.
3Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira omulundi ogwokubiri
4nti, “Ddira olukoba lwe wagula lwe weesibye mu kiwato kyo ogende ku mabbali g’omugga Fulaati olukweke eyo mu lwatika lw’olwazi.”
5Bwe ntyo ne ŋŋenda ne ndukweka ku mabbali g’omugga Fulaati nga Mukama bwe yandagira.
6Ennaku nnyingi nga ziyiseewo, ate Mukama nandagira nti, “Genda kaakano ku Fulaati oleete olukoba lwe nakulagira okukwekayo.”
7Awo ne ndyoka ŋŋenda ku mugga Fulaati, ne nsimulayo olukoba ne nduggya mu kifo we nnali ndukwese. Naye laba, olukoba lwali lwonoonese, nga terukyalina kye lugasa.
8Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti,
9“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe ntyo bwe ndikkakkanya okwegulumiza kwa Yuda ne Yerusaalemi.
10Abantu bano aboonoonyi abagaana okukwata ebigambo byange, abagoberera obujeemu bw’emitima gyabwe ne bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n’okubasinza, bajja kuba ng’olukoba olwo olutaliiko kye lugasa.
11Ng’olukoba bwe lunywerera mu kiwato ky’omuntu, bwe ntyo bwe nzija okwagala ennyumba ya Isirayiri yonna n’eya Yuda zinneesibeko,’ bw’ayogera Mukama, ‘balyoke babeere abantu bange, bagulumize erinnya lyange n’ettendo; naye bo ne batawulira.’ ”
12“Bagambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo.’ Nabo balikuddamu nti, ‘Tetumanyi nga buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo?’
13Olwo olyoke obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Laba nditamiiza abantu bonna abatuula mu nsi eno, ne bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi ey’obwakabaka, ne bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi.
14Era buli omu alikoonagana ne munne, abalenzi ne bakitaabwe, bw’ayogera Mukama. Siribalumirwa, wadde okubaleka oba okubakwatirwa ekisa, ndibazikiriza.’ ”
15Wuliriza ontegere okutu; toba na malala, Mukama y’akyogedde.
16Mukama Katonda wo mugulumize nga tannaleeta kizikiza, nga ebigere byo tebinneesittala ku nsozi ezikutte ekizikiza. Musuubira ekitangaala, naye ajja okukifuulamu ekisiikirize eky’okufa akikyuse kibe ekizikiza ekikutte ennyo.
17Naye bwe mutaafeeyo, emmeeme yange eneekaabira mu kyama olw’amalala gammwe; amaaso gange gajja kukaaba nnyo nnyini gakulukuse amaziga era ekisibo kya Mukama kijja kuwambibwa.
18Gamba kabaka era ne namasole nti, “Mukke muve ku ntebe zammwe ez’obwakabaka, kubanga engule zammwe ez’ebitiibwa zijja kugwa okuva ku mitwe gyammwe.”
19Ebibuga by’e Negebu biggaddwawo, tewali n’omu anaabiggulawo; Yuda yonna yaakutwalibwa mu buwaŋŋanguse, yonna yaakutwalibwa.
20Muyimuse amaaso gammwe mulabe abo abava mu bukiikakkono. Kiruwa ekisibo ekyabaweebwa, endiga ezaabeeyinuzanga?
21Muligamba mutya Mukama bw’alibawaayo okufugibwa abo be mwali mutwala nga ab’omukago? Temulirumwa ng’omukazi alumwa okuzaala?
22Era bwe weebuuza nti, “Lwaki kino kintuseeko?” Olw’ebibi byo ebingi engoye zo kyezivudde ziyuzibwa, era omubiri gwo ne gubonerezebwa.
23Omuwesiyopya ayinza okukyusa olususu lw’omubiri gwe oba engo okukyusa amabala gaayo? Bwe mutyo bwe mutasobola kukola birungi, mmwe abaamanyiira okukola ebibi.
24“Ndibasaasaanya ng’ebisusunku ebifuuyibwa empewo eva mu ddungu.
25Guno gwe mugabo gwo gwe nakupimira,” bw’ayogera Mukama, “kubanga wanneerabira ne weesiga bakatonda ab’obulimba.
26Nze kennyini ndibikkula engoye zammwe ne nzibikka ku mitwe gyammwe, obwereere bwammwe ne bulabika.
27Ndabye obwenzi bwammwe n’obwamalaaya bwe mukoze. Ndabye ebikolwa byo eby’ekivve ku busozi era ne mu nnimiro. Zikusanze ggwe, ayi Yerusaalemi! Olituusa ddi obutaba mulongoofu?”
Yeremiya
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0