1 Ebyomumirembe 1

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Adamu yazaala Seezi, Seezi n’azaala Enosi;

2Enosi n’azaala Kenani, Kenani n’azaala Makalaleri, Makalaleri n’azaala Yaledi;

3Yaledi n’azaala Enoka, Enoka n’azaala Mesuseera, Mesuseera n’azaala Lameka, Lameka n’azaala Nuuwa.

4Nuuwa n’azaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi.

5Batabani ba Yafeesi baali: Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yavani, ne Tubali, ne Meseki, ne Tirasi.

6Batabani ba Gomeri baali: Asukenaazi, ne Difasi ne Togaluma.

7Batabani ba Yavani baali: Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu, ne Lodanimu.

8Batabani ba Kaamu baali: Kuusi, ne Mizulayimu, ne Puuti, ne Kanani.

9Batabani ba Kuusi baali: Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama, ne Sabuteka. Ne batabani ba Laama baali: Seeba ne Dedani.

10Kuusi n’azaala Nimuloodi, Nimuloodi n’akula n’afuuka omusajja omuzira ow’amaanyi mu nsi.

11Mizulayimu n’azaala Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu;

12ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (Abafirisuuti mwe basibuka), ne Kafutolimu.

13Kanani n’azaala Sidoni, ye mutabani we omukulu, ne Keesi;

14n’Abayebusi, n’Abamoli, n’Abagirugaasi;

15n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini;

16n’Aballuvadi, n’Abazemali n’Abakamasi.

17Batabani ba Seemu baali: Eramu, ne Asuli, ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu. Ate batabani ba Alamu baali: Uzi, ne Kuuli, ne Geseri, ne Meseki.

18Alupakusaadi n’azaala Seera, Seera n’azaala Eberi.

19Eberi yazaala abaana babiri aboobulenzi, erinnya ly’omu nga ye Peregi, amakulu nti ensi yali egabiddwamu, n’erinnya ly’omulala nga ye Yokutaani.

20Yokutaani n’azaala Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera;

21ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula;

22ne Ebali, ne Abimayeeri, ne Seeba;

23ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu. Era abo bonna be baali batabani ba Yokutaani.

24Enda ya Seemu okutuuka ku Ibulaamu ye yali eno; Seemu n’azaala Alupakusaadi, Alupakusaadi n’azaala Seera,

25Seera n’azaala Eberi, Eberi n’azaala Peregi, ne Peregi n’azaala Lewu.

26Lewu n’azaala Serugi, Serugi n’azaala Nakoli, ne Nakoli n’azaala Teera,

27Teera n’azaala wa Ibulaamu, oyo ye Ibulayimu.

28Batabani ba Ibulayimu baali Isaaka ne Isimayiri.

29Luno lwe lulyo lwabwe: Nebayoosi ye yali mutabani wa Isimayiri omukulu, ne kulyoka kuddako Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu,

30ne Misuma, ne Duma, ne Massa, ne Kadadi, ne Teema,

31ne Yetuli, ne Nafisi ne Kedema. Eyo y’enda ya Isimayiri.

32Batabani ba Ketula, omuweereza omukazi owa Ibulayimu be baali Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki ne Suwa. Ate batabani ba Yokusaani baali Seeba ne Dedani.

33Batabani ba Midiyaani baali Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida ne Eruda. Abo bonna be baali bazzukulu ba Ketula.

34Ibulayimu n’azaala Isaaka; batabani ba Isaaka baali Esawu ne Isirayiri.

35Batabani ba Esawu baali Erifaazi, ne Leweri, ne Yewusi, ne Yalamu ne Koola.

36Batabani ba Erifaazi baali Temani, ne Omali, ne Zeefi, ne Gatamu, ne Kenozi, ne Timuna ne Amaleki.

37Batabani ba Leweri baali Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza.

38Batabani ba Seyiri baali Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, ne Disoni, ne Ezeri ne Disani.

39Batabani ba Lotani baali Kooli, ne Komamu; Timuna yali mwannyina Lotani.

40Batabani ba Sobali baali Aliyani, ne Manakasi, ne Ebali, ne Seefi ne Onamu. Ne batabani ba Zibyoni baali Aya ne Ana.

41Mutabani wa Ana yali Disoni, batabani ba Disoni nga be ba Kamulani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani.

42Batabani ba Ezeri baali Birukani, ne Zaavani ne Yaakani; batabani ba Disani baali Uzi ne Alani.

43Bano be bakabaka abaafuga mu Edomu nga tewannabaawo kabaka mu Isirayiri abafuga: Bera mutabani wa Byoli n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Dinukaba.

44Bera bwe yafa, Yokabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’amusikira okuba kabaka.

45Yokabu bwe yafa, Kusamu eyava mu nsi y’Abatemani, n’amusikira okuba kabaka.

46Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyali awangudde Midiyaani mu nsi Mowaabu, n’afuga mu kifo kye n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Avisi.

47Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye.

48Samula bwe yafa, Sawuli ow’e Lekobosi ekiri okumpi n’omugga Fulaati, n’afuga mu kifo kye.

49Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye.

50Baalukanani bwe yafa, Kadadi n’afuga mu kifo kye, n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Payi, ate nga mukyala we ye Meketaberi muwala wa Matuledi, ate era nga ye muzzukulu wa Mezakabu.

51Kadadi naye n’afa. Abakungu ba Edomu baali Timuna, ne Aliya, Yesesi,

52ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni,

53ne Kenozi, ne Temani, ne Mibuzali,

54ne Magudyeri, ne Iramu. Abo be baali abakungu ba Edomu.

1 Ebyomumirembe

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0