1 Ebyomumirembe 3
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Bano be baana Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni: Omuggulanda ye yali Amunoni gwe yazaala mu Akinoamu Omuyezuleeri; owookubiri ye yali Danyeri gwe yazaala mu Abbigayiri Omukalumeeri;
2owookusatu ye yali Abusaalomu gwe yazaala mu Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w’e Gesuli; n’owookuna ye yali Adoniya gwe yazaala mu Kaggisi.
3Owookutaano ye yali Sefatiya, gwe yazaala mu Abitali n’ow’omukaaga nga ye Isuleyamu gwe yazaala mu Egula.
4Bano omukaaga Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni, gye yafugira emyaka musanvu n’emyezi mukaaga. Dawudi yafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu esatu,
5era bano be baana be yazaalira eyo: Simeeyi, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani be yazaala mu Besusebba muwala wa Amiyeeri.
6N’abalala baali Ibukali, ne Erisaama, ne Erifereti,
7ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya,
8ne Erisaama, ne Eriyada, ne Erifereti, bonna awamu mwenda.
9Bano bonna be baali batabani ba Dawudi, obutabala batabani be abalala aba bazaana be. Tamali ye yali mwannyinaabwe.
10Mutabani wa Sulemaani yali Lekobowaamu, ne Abiya nga ye mutabani wa Lekobowaamu, ne Asa nga ye mutabani wa Abiya, ne Yekosafaati nga ye mutabani wa Asa,
11ne Yolaamu nga ye mutabani wa Yekosafaati, ne Akaziya nga ye mutabani wa Yolaamu, ne Yowaasi nga ye mutabani wa Akaziya,
12Amaziya nga ye mutabani wa Yowaasi, ne Azaliya nga ye mutabani wa Amaziya, ne Yosamu nga ye mutabani wa Azaliya.
13Akazi yali mutabani wa Yosamu, ne Keezeekiya nga ye mutabani wa Akazi, ne Manase nga ye mutabani wa Keezeekiya.
14Amoni yali mutabani wa Manase, ne Yosiya nga ye mutabani wa Amoni.
15Batabani ba Yosiya baali Yokanaani omuggulanda, ne Yekoyakimu ye yali owookubiri, ne Zeddekiya nga wa wakusatu, ne Sallumu nga wakuna.
16Batabani ba Yekoyakimu baali Yekoniya ne Zeddekiya.
17Abaddirira mu lulyo lwa Yekoniya omuwambe be ba: Seyalutyeri mutabani we,
18ne Malukiramu, ne Pedaya, ne Senazzali, ne Yekamiya, ne Kosama ne Nedabiya.
19Batabani ba Pedaya baali Zerubbaberi ne Simeeyi. Batabani ba Zerubbaberi baali Mesullamu ne Kananiya, ne Seronisi nga ye mwannyinaabwe.
20N’abalala abataano be yazaala baali Kasuba, ne Okeri, ne Berekiya, ne Kasadiya ne Yusubukesedi.
21Batabani ba Kananiya baali Peratiya ne Yesukaya, ne mutabani wa Yesukaya nga ye Lefaya, ne mutabani wa Lefaya nga ye Alunani, ne mutabani wa Alumani nga ye Obadiya, ne mutabani wa Obadiya nga ye Sekaniya.
22Ab’olulyo lwa Sekaniya baali Semaaya mutabani we, ng’abazzukulu be ba Kattusi, ne Igali, ne Baliya, ne Neyaliya, ne Safati. Abazzukulu bonna awamu baali mukaaga.
23Batabani ba Neyaliya baali Eriwenayi, ne Kizukiya, ne Azulikamu, be baana basatu bonna awamu.
24Batabani ba Eriwenayi baali Kodaviya, ne Eriyasibu, ne Peraya, ne Akkubu, ne Yokanaani, ne Deraya ne Anami, be baana musanvu.
1 Ebyomumirembe
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0