1 Ebyomumirembe 7

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Abaana ba Isakaali baali bana: Tola, ne Puwa, ne Yasubu, ne Simuloni.

2Batabani ba Tola baali Uzzi, Lefaya, Yeryeri, Yamayi, Ibusamu ne Semweri, era be baali abakulu b’enda zaabwe. Ku mulembe gwa Dawudi, bazzukulu ba Tola baali abasajja abalwanyi nga bawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lukaaga.

3Uzzi n’azaala Izulakiya. Izulakiya n’azaala Mikayiri, ne Obadiya, ne Yoweeri ne Issiya, era bonna baali bakulu.

4Okusinziira ku nda yaabwe, baali basajja b’amaanyi era nga balwanyi ba ntalo, nga balina abakyala n’abaana bangi, nga bawera abasajja emitwalo esatu mu kakaaga.

5Baganda baabwe bonna awamu abaali ab’ekika kya Isakaali baali abasajja abalwanyi emitwalo munaana mu kasanvu bonna awamu.

6Benyamini yalina abatabani basatu, Bera, ne Bekeri ne Yediyayeri.

7Batabani ba Bera baali Ezuboni, ne Uzzi, ne Wuziyeeri, ne Yerimosi ne Iri, be baana bataano, ate nga bonna bakulu b’enda zaabwe. Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu amakumi asatu mu bana.

8Batabani ba Bekeri baali Zemira, ne Yowaasi, ne Eryeza, ne Eriwenayi, ne Omuli, ne Yeremosi, ne Abiya, ne Anasosi ne Alemesi. Bano be baali abaana ba Bekeri ate nga bonna bakulu b’enda zaabwe.

9Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu ebikumi bibiri mu bibiri.

10Mutabani wa Yediyayeri, yali Birukani, ate batabani ba Birukani nga be ba Yewusi, ne Benyamini, ne Ekudi, ne Kenaana, ne Zesani, ne Talusiisi ne Akisakali.

11Bano bonna baali bazzukulu ba Yediyayeri ate nga be bakulu b’enda zaabwe. Era baali abasajja abalwanyi omutwalo gumu mu kasanvu mu ebikumi bibiri.

12Abasuppimu n’Abakupimu baali bazzukulu ba Iri, ate ng’Abakusimu bazzukulu ba Akeri.

13Batabani ba Nafutaali baali Yaziyeri, ne Guni, ne Yezeri ne Sallumu, era bano be bazzukulu ba Biruka.

14Bano be baali bazzukulu ba Manase: Asuliyeri ne Makiri mukyala we Omwalamu. Be yamuzaalira. Makiri n’azaala Gireyaadi.

15Makiri n’awasa okuva mu Bakupimu n’Abasuppimu, n’erinnya lya mwannyina nga ye Maaka. Omuzzukulu omulala yali Zerofekadi, era ng’alina baana ba buwala bokka.

16Maaka mukyala wa Makiri n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Peresi. Muganda we ye yali Seresi, nga ne batabani ba Seresi be ba Ulamu ne Lekemu.

17Mutabani wa Ulamu yali Bedani, era bano nga be batabani ba Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase.

18Mwannyina Kammolekisi n’azaala Isukondi, ne Abiyezeeri ne Makula.

19Batabani ba Semida baali Akyani, ne Sekemu, ne Liki ne Aniyamu.

20Mutabani wa Efulayimu yali Susera, mutabani wa Susera nga ye Beredi, mutabani wa Beredi nga ye Takasi, mutabani wa Takasi nga ye Ereyadda, mutabani wa Ereyadda nga ye Takasi,

21mutabani wa Takasi nga ye Zabadi, ate mutabani wa Zabadi nga ye Susera. Efulayimu yalina batabani be abalala babiri, nga be ba Ezeri ne Ereyaddi abattibwa mu nsi ya Gusi nga bagenze okubba (okunyaga) ente.

22Efulayimu n’abakungubagira okumala ennaku nnyingi, era baganda be ne bajja okumukungubagirako.

23Awo Efulayimu n’amanya mukyala we, mukyala we n’azaala omwana owoobulenzi omulala, n’amutuuma Beriya kubanga ennyumba ye yatuukibwako emitawaana.

24Ne muwala we yali Sera, era oyo yazimba Besukoloni ekya eky’emmanga n’eky’engulu, ne Uzzemmuseera.

25Efulayimu yalinayo n’omutabani omulala erinnya lye Leefa, nga ye kitaawe wa Lesefu, Lesefu n’azaala Teera, Teera n’azaala Takani,

26Takani n’azaala Ladani, Ladani n’azaala Ammikudi, Ladani n’azaala Erisaama,

27Erisaama n’azaala Nuuni, Nuuni n’azaala Yoswa.

28Ettaka lyabwe n’ebifo we baasenga byali Beseri n’obubuga obutono obukyetoolodde, ebuvanjuba w’e Naalani, ebugwanjuba w’e Gezeri, n’obubuga bwakyo, n’e Sekemu n’obubuga bwakyo, okutuukira ddala ku Azza n’obubuga obukyetoolodde.

29Bazzukulu ba Yusufu, Abamanase, mutabani wa Isirayiri babeeranga Besuseyani, n’e Taanaki, n’e Megiddo, n’e Doli n’obubuga obwali bubiriranye.

30Abaana ba Aseri baali Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya, ne Seera mwannyinaabwe.

31Batabani ba Beriya baali Keberi ne Malukiyeeri, ne Malukiyeeri nga ye kitaawe wa Biruzayisi.

32Keberi n’azaala Yafuleti, ne Somera, ne Kosamu ne mwannyinaabwe Suwa.

33Batabani ba Yafuleti baali Pasaki, ne Bimukali, ne Asuvasi.

34Batabani ba Semeri baali Aki, ne Loga, ne Yekubba ne Alamu.

35Batabani ba muganda we Keremu baali Zofa, ne Imuna, ne Seresi ne Amali.

36Batabani ba Zofa baali Suwa, ne Kaluneferi, ne Suwali, ne Beri, ne Imula,

37ne Bezeri, ne Kodi, ne Samma, ne Sirusa, ne Isulani ne Beera.

38Batabani ba Yeseri baali Yefune, ne Pisupa ne Ala.

39Batabani ba Ulla baali Ala, ne Kanieri ne Liziya.

40Bano bonna baali bazzukulu ba Aseri, abamu nga bakulu ba nda zaabwe abalala nga basajja baakitiibwa, n’abalala nga balwanyi abazira, n’abalala nga baami bakulu ddala mu bitiibwa byabwe. Abasajja abalwanyi bonna awamu bawera emitwalo ebiri mu kakaaga.

1 Ebyomumirembe

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0