Ennyiriri za Bayibuli ku Buli Ky'Anaababaako
Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Buli Ky'Anaababaako okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Nnyina Yesu n’agamba abaweereza nti, “Kyonna ky’abagamba kye muba mukola.”
Simooni n’addamu nti, “Mukama waffe, twateganye dda ekiro kyonna, naye ne tutakwasa kantu. Naye ggwe nga bw’otugambye, nzija kusuula obutimba.”
Muba mikwano gyange bwe mukola bye mbalagira.
Naye Samwiri n’amugamba nti, “ Mukama asanyukira nnyo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, okusinga okugondera eddoboozi lya Mukama? Okugonda kusinga ssaddaaka, era n’okuwuliriza kusinga amasavu g’endiga ennume.
Naye Peetero n’abatume ne baddamu nti, “Kitugwanira okugondera Katonda okusinga okugondera abantu.
Mukama Katonda wammwe gwe munaagobereranga, era ye yekka gwe munaatyanga, era amateeka ge, ge munaakwatanga, era n’eddoboozi lye, lye munaawulirizanga era lye munaagonderanga, era ku ye kwe munaanywereranga.
Yesu n’amuddamu nti, “Omuntu yenna anjagala anaagonderanga ekigambo kyange, ne Kitange anaamwagalanga, era Nze ne Kitange tunajjanga ne tubeera mu ye era tunaatuulanga mu ye.
“Lwaki mumpita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ so nga bye mbagamba si bye mukola?
Bwe tugondera ebiragiro bye, kye kikakasa nti tumutegeera.
Naye etteeka lino lye nabawa ligamba nti, ‘Muŋŋondere, nange nnaabeera Katonda wammwe, nammwe munaabeera bantu bange. Mutambulire mu makubo gonna ge mbalagira, mulyoke mubeere bulungi.’
Abantu bonna ne baddiramu wamu nti, “Ebyo byonna Mukama by’agambye, tujja kubikola.” Musa n’ategeeza Mukama ng’abantu bwe baayogera.
Naye abayigirizwa ne bawuniikirira nnyo! Ne beebuuza nti, “Muntu ki ono, omuyaga n’ennyanja gwe bigondera?”
Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera.
Mpa okutegeera ndyoke nkuume amateeka go era ngakwate n’omutima gwange gwonna.