Ennyiriri za Bayibuli ku Mukama, Twongere Okukkiriza
Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Mukama, Twongere Okukkiriza okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Awo abatume ne bagamba Mukama waffe nti, “Twongereko okukkiriza.”
Amangwago Kitaawe w’omwana n’ayogerera waggulu nti, “Nzikiriza, naye nnyamba okukkiriza kwange kweyogereko!”
Mukama waffe n’abagamba nti, “Singa okukkiriza kwammwe kuba ng’akaweke ka kaladaali, mwandigambye omukenene guno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ era ne gubagondera.
Yesu n’abaddamu nti, “Olw’okukkiriza kwammwe okutono. Kubanga ddala ddala mbagamba nti, bwe muba n’okukkiriza okufaanana ng’akaweke ka kaladaali, mwandiyinzizza okugamba olusozi luno nti, ‘Vvaawo wano,’ era ne luvaawo era tewandibaddewo kye mulemwa.
nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era y’akutuukiriza, olw’essanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku luuyi olwa ddyo olw’entebe ya Katonda.
Yesu n’amuddamu nti, “Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza.”
Mwalokolebwa lwa kisa olw’okukkiriza. Tekwava mu mmwe, wabula kirabo kya Katonda.
Kitugwanidde okwebazanga Katonda bulijjo ku lwammwe abooluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kweyongedde nnyo okukula, awamu n’okwagalana kwammwe mwekka na mwekka,
naye ggwe nkusabidde okukkiriza kwo kuleme kukuggwaamu. Era bw’olimala okwenenya, yamba mu kuzimba n’okunyweza okukkiriza kwa baganda bo.”