Ennyiriri za Bayibuli ku Kuuma Omutima gwo

Ennyiriri za Bayibuli 10 ku Kuuma Omutima gwo okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Engero 4:23

Ekisinga byonna kuuma omutima gwo, kubanga y’ensulo y’obulamu bwo.

02 Abafiripi 4:7

N’emirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe n’emitima gyammwe mu Kristo Yesu.

03 Matayo 12:34

Mmwe abaana b’embalasaasa, mmwe abalina ebibi muyinza mutya okwogera ebirungi? Akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima.

04 Engero 4:24-25

Weewalire ddala eby’obubambavu era n’okwogera ebya swakaba. Amaaso go gatunulenga butereevu, era otunulenga n’obumalirivu eyo gy’olaga.

05 Zabbuli 119:11

Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange; ndyoke nneme okwonoona.

06 Engero 23:7

Kubanga ye muntu abalirira ensimbi z’asaasaanyizza, n’akugamba nti, “Weeriire, weenywere,” naye ng’omutima gwe tegukusanyukira.

07 Lukka 6:45

Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu mutima gwe omulungi, n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu mutima gwe omubi. Kubanga akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima.”

08 Zabbuli 51:10

Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda, era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.

09 Ekyamateeka Olwokubiri 6:6

Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo.

10 Engero 4:21

ebigambo bino tebikuvangako, bikuumire ddala mu mutima gwo,

Emitwe egikwatagana