Ennyiriri za Bayibuli ku Tetulekanga Kukuŋŋaana

Ennyiriri za Bayibuli 12 ku Tetulekanga Kukuŋŋaana okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abaebbulaniya 10:25

Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ng’abamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lw’okudda kwa Mukama waffe lusembedde.

02 Abaebbulaniya 10:24

era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ebikolwa ebirungi.

03 Ebikolwa by’Abatume 2:42

Ne banyiikiranga okuyigirizibwa kw’abatume ne mu kussekimu, ne mu kumenya omugaati era ne mu kusaba.

04 Zabbuli 122:1

Nasanyuka bwe baŋŋamba nti, “Tugende mu nnyumba ya Mukama!”

05 Matayo 18:20

Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”

06 Matayo 18:19-20

“Era ddala ddala mbagamba nti bwe munaabanga babiri mu nsi ne mukkiriziganya ku ekyo kye mwagala okusaba, Kitange ali mu ggulu alikibakolera. Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”

07 Ebikolwa by’Abatume 2:46

Ne banyiikiranga okukuŋŋaananga mu Yeekaalu buli lunaku, era ne bakuŋŋaananga ne mu maka gaabwe nju ku nju okumenya omugaati, ne baliiranga wamu emmere yaabwe n’essanyu lingi n’omutima ogutalina bukuusa,

08 Zabbuli 84:10

Okumala olunaku olumu mu mpya zo, kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala. Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange, okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.

09 Ebikolwa by’Abatume 20:7

Awo olumu ku nnaku za ssabbiiti, bwe twali tukuŋŋaanye okumenya omugaati, Pawulo n’abaako bye yali abayigiriza. Naye olwokubanga enkeera yali asitula, n’ayogerera ebbanga ddene nnyo, n’atuusa mu ttumbi ng’akyayogera!

10 Abakkolosaayi 3:16

Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe.

11 1 Abakkolinso 14:26

Kale abooluganda tugambe tutya? Bwe mukuŋŋaana buli omu aba ne zabbuli, oba eky’okuyigiriza, oba ekyo Katonda ky’amubikkulidde, oba okwogera mu nnimi, oba okuvvuunula. Ebyo byonna bisaana bikolebwe olw’okuzimba Ekkanisa ya Katonda.

12 Zabbuli 27:4

Ekintu kimu kye nsaba Mukama, era ekyo kye nnoonya: okubeeranga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange, ne ndabanga obulungi bwa Mukama, era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.

Emitwe egikwatagana