Ennyiriri za Bayibuli ku Atavunaanibwa

Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Atavunaanibwa okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 1 Timoseewo 3:2

Noolwekyo Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja wa mukazi omu, nga muntu eyeefuga, nga mwegendereza, nga mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ng’amanyi okuyigiriza.

02 Tito 1:7

Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa ng’omuwanika wa Katonda, nga si mukakanyavu, nga si wa busungu, nga si mutamiivu, nga si mukambwe, nga teyeegomba kufuna magoba mu bukuusa

03 1 Timoseewo 3:10

Basookanga kugezesebwa balyoke baweereze mu budiikooni nga tebaliiko kya kunenyezebwa.

04 Abafiripi 2:15

mulyoke mube nga temuliiko kyakunenyezebwa nga muli balongoofu, mube abaana ba Katonda abatalina bbala, wakati mu mulembe ogwakyama era omwonoonefu, mwe mubeere ekyokulabirako eky’amaanyi mu nsi,

05 1 Peetero 2:12

Mukuumenga empisa zammwe ennungi, abo be mubeera nabo abatakkiriza, newaakubadde baboogerako nti ebikolwa byammwe bibi, basobole okulaba ebirungi bye mukola, balyoke bagulumize Katonda ku lunaku lw’alirabikirako.

06 Tito 2:7-8

mu bintu byonna, ng’obeera ekyokulabirako ekirungi mu byonna by’okola, ng’oli mwesimbu era assaayo omwoyo mu kuyigiriza kwo. Buli ky’oyogera kiteekwa okuba nga tekiriiko kya kunenyezebwa, oyo awakanya alyoke aswale, nga talina kibi kya kukwogerako.

07 1 Basessaloniika 5:22

Mwewalenga buli ngeri ya kibi.

08 Abakkolosaayi 1:22

Naye kaakano mutabaganye ne Kristo olw’okufa kwe, abanjuleyo mu maaso ga Katonda nga muli batukuvu era abataliiko bbala wadde ekyokunenyezebwa.

09 1 Abakkolinso 1:8

Era oyo y’alibanyweza ku nkomerero, nga temuliiko kya kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu Kristo.

Emitwe egikwatagana