Ennyiriri za Bayibuli ku Omutima Omulongoofu
Ennyiriri za Bayibuli 5 ku Omutima Omulongoofu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya? Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu? Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu; atasinza bakatonda abalala, era atalayirira bwereere.
Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda, era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
03 Matayo 5:8
Balina omukisa abalina omutima omulongoofu, kubanga abo baliraba Katonda.
04 Engero 4:23
Ekisinga byonna kuuma omutima gwo, kubanga y’ensulo y’obulamu bwo.
05 Yakobo 4:8
Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga.