Zeffaniya 1

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Ekigambo kya Mukama ekyajjira Zeffaniya mutabani wa Kuusi, muzzukulu wa Gedaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Keezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, Kabaka wa Yuda.

2“Ndizikiririza ddala byonna okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.

3“Ndizikiriza abantu wamu n’ensolo; ndizikiriza ebinyonyi eby’omu bbanga n’ebyennyanja; ababi balisigaza ntuumu ya kafakalimbo; bwe ndimalawo abantu okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.

4Ndigololera ku Yuda omukono gwange, era ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi; era ekitundu kya Baali ekifisseewo n’ennyumba ya Bakemali, bakabona abasinza ebifaananyi, ndibazikiriza okuva mu kifo kino,

5abo abavuunamira eggye ery’omu ggulu ku nnyumba waggulu, ne balisinza n’abo abalayira mu linnya lya Mukama, ate nga balayira ne mu linnya lya Malukamu,

6abo abadda emabega obutagoberera Mukama, wadde abo abatamunoonya newaakubadde okumwebuuzaako.

7Siriikirira awali Mukama Katonda, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi. Mukama ategese ssaddaaka, era atukuzizza abagenyi be.

8Ku lunaku olwa ssaddaaka ya Mukama, ndibonereza abakungu n’abaana ba Kabaka, n’abo bonna abambadde ebyambalo ebitasaana.

9Awo ku lunaku olwo ndibonereza abo bonna abeewala okulinnya ku muziziko, n’abo abajjuza ennyumba ya Mukama waabwe ebikolwa eby’obukambwe n’obulimba.

10Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama, eddoboozi ery’okukaaba liriwulikika ku Mulyango ogw’Ebyennyanja, okukaaba okuva ku luuyi olwokubiri, n’okubwatuka okunene okuva ku nsozi.

11Mwekaabireko, mmwe abali mu matwale g’akatale; abasuubuzi bammwe bonna zibasanze, n’abo abeebinika ffeeza balizikirizibwa.

12Awo olulituuka mu biro ebyo ndimulisa Yerusaalemi n’ettabaaza nga nnoonya, mbonereze abo bonna abalagajjavu abali ng’omwenge ogutanasengejjebwa, abalowooza nti Mukama talibaako ne ky’akolawo.

13Obugagga bwabwe bulinyagibwa, n’ennyumba zaabwe zimenyebwemenyebwe. Ne bwe balizimba ennyumba tebalizituulamu, era balisimba ennimiro ez’emizabbibu nazo tebalinywa wayini wamu.

14Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi; ddala lunaatera okutuuka. Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi, n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.

15Olunaku olwo lunaku lwa busungu, lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku, lunaku lwa mutawaana n’okuzikirira, olunaku olw’ekikome n’ekizikiza, olunaku lw’ebire n’ekizikiza ekikutte ennyo;

16olunaku olw’okufuuwa ekkondeere n’okulangirira olutalo ku bibuga ebiriko ebigo n’eri eminaala emigulumivu.

17Ndireeta, obuyinike ku bantu, batambule ng’abazibe b’amaaso, kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama, omusaayi gwabwe guliyiyibwa ng’enfuufu, n’ebyenda byabwe bivundire kungulu.

18Effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubataasa ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama. Ensi yonna erizikirizibwa omuliro gw’obuggya bwe, era alimalirawo ddala abo bonna abali mu nsi.

Zeffaniya

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0