Zeffaniya 2
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Mukuŋŋaane, weewaawo, mukuŋŋaane, mmwe eggwanga eritalina nsonyi,
2ekiseera ekyategekebwa nga tekinnatuuka, olunaku ne luba ng’ebisusunku ebifuumulibwa, obusungu bwa Mukama nga tebunnabatuukako, ng’olunaku olw’obusungu bwa Mukama terunnabatuukako.
3Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab’omu nsi, abakola by’alagira; munoonye obutuukirivu n’obuwombeefu; mpozzi mulikwekebwa ku lunaku olw’obusungu bwe.
4Gaza kirirekebwawo, ne Asukulooni kiriba matongo: abantu ba Asudodi baligobebwamu mu ttuntu, ne Ekuloni kirisimbulibwa.
5Zibasanze mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja, eggwanga ery’Abakeresi! Ekigambo kya Mukama kikwolekedde, ggwe Kanani, ensi ey’Abafirisuuti. Ndikuzikiriza so tewaliba asigalawo.
6Olubalama lw’ennyanja ab’Akeresi gye babeera luliba malundiro g’abasumba n’ebisulo by’endiga.
7Olubalama lw’ennyanja luliba lwa kitundu ky’ennyumba ya Yuda ekyasigalawo era we banaalundiranga, ne mu nnyumba za Asukulooni mwe banaagalamiranga akawungeezi. Mukama Katonda waabwe alibalabirira, n’akomyawo obugagga bwabwe.
8Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu n’okusekerera kw’Abamoni kwe bavumye abantu bange ne batiisatiisa ensi yaabwe.
9Kale nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wa Isirayiri, ddala Mowaabu aliba nga Sodomu, n’abaana ba Amoni nga Ggomola, ekifo emyennyango kye gyemala, n’ebirombe by’omunnyo, amatongo agolubeerera. Balinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo, n’ekitundu ky’eggwanga lyange ekifisseewo kiritwala ensi yaabwe.
10Eno y’eriba empeera yaabwe olw’amalala gaabwe, kubanga bavumye ne banyooma abantu ba Mukama Ayinzabyonna.
11Mukama aliba wa ntiisa gye bali bw’alizikiriza bakatonda bonna ab’ensi. Amawanga gonna ag’oku mbalama zonna galimusinza, buli muntu ng’asinziira mu nsi ye.
12Nammwe Abaesiyopiya, mulittibwa n’ekitala kyange.
13Aligololera omukono gwe ku bukiikakkono n’azikiriza Obwasuli; n’afuula Nineeve amatongo era ekikalu ng’eddungu.
14Ente n’endiga zinaagalamiranga wakati mu kyo, n’ensolo zonna eza buli kika: ekiwuugulu era ne nnamunnungu banaasulanga ku mpagi zaakyo. Amaloboozi gaabyo ganaawulikikanga mu madirisa; kafakalimbo ajjudde mu miryango, n’emikiikiro egy’emivule giryelulwa.
15Kino kye kibuga ekya kyetwala, ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti, Nze we ndi, tewali mulala wabula nze: nga kifuuse bifulukwa, ekifo ensolo ez’omu nsiko we zigalamira! Buli muntu akiyitako aneesoozanga n’akinyoomoola.
Zeffaniya
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0