Mikka 6

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Muwulire Mukama by’ayogera ng’agamba nti, “Muyimuke leero tuwoze ensonga zammwe mu maaso g’ensozi, n’obusozi buwulire bye mugamba.

2“Kaakano mmwe ensozi muwulire Mukama ky’abavunaana; nammwe emisingi gy’ensi egy’olubeerera muwulire. Mukama alina ensonga ku bantu be era agenda kuwawabira Isirayiri.

3“Mmwe abantu bange kiki kye nnali mbakoze? Nnali mbazitooweredde? Munziremu.

4Nabaggya mu nsi ye Misiri ne mbanunula mu nsi ey’obuddu, ne mbawa Musa, ne Alooni ne Miryamu okubakulembera.

5Mmwe abantu bange mujjukire ekigendererwa kya Balaki kabaka wa Mowaabu n’ebigambo, Balamu omwana wa Byoli bye yayogera. Mujjukire bye nabakolera okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali mulyoke mumanye ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu.”

6Mwebuuza nti kiki kye nnaaleeta mu maaso ga Mukama nvuuname mu maaso ga Katonda agulumizibwa? Mmusemberere n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ennyana ezaakamala omwaka ogumu?

7Mukama alisiima endiga eza sseddume olukumi, oba emitwalo gy’emigga gy’amafuta? Mpeeyo omwana wange omubereberye olw’ebibi byange, nga mpaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi eky’emmeeme yange?

8Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola. Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza, okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.

9Wuliriza, Mukama akoowoola ekibuga mu ddoboozi ery’omwanguka. “Kya magezi ddala okutya erinnya lye, n’okussaayo omwoyo eri okukangavvula n’eri oyo akangavvula.

10Nnyinza okwerabira eby’obugagga bye mwefunira, mmwe ennyumba erina obutali butuukirivu, erina n’ekigera ekitatuuka eky’omuzizo?

11Nnyinza okusonyiwa omuntu alina ebigera ebitatuuse, alina ensawo ez’ebipimo eby’obulimba?

12Abagagga baakyo bakambwe n’abatuuze baamu balimba n’ennimi zaabwe tezoogera mazima.

13Nange kyenvudde ntandika okukuzikiriza, nkumalewo olw’ebibi byo.

14Onoolyanga, naye n’otokutta, era olubuto lwo lulisigala lutokota nga lukubanja. Oligezaako okukuŋŋaanya, weeterekere, naye tolibaako na kimu ky’otereka kubanga byonna ndibiwaayo eri ekitala.

15Olisiga naye tolikungula, oligezaako okusogola emizeeyituuni weggyiremu amafuta naye tolifuna mafuta gamala kusaabako, olisogola emizabbibu naye toliggyamu kyakunywa.

16Olw’okuba ng’okolera ku biragiro bya Omuli n’ogoberera n’ebikolwa byonna eby’ennyumba ya Akabu n’ogoberera n’emizizo gyabwe, kyendiva nkufuula ekifulukwa, n’abantu bo bonna babeere eky’okuduulirwa era olibaako ekivume ky’amawanga.”

Mikka

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0